Nnamugereka

Nnamugereka
Performed by-
CategoryOffertory/Sadaka
Views3,096

Nnamugereka Lyrics

  1. Nnamugereka atuwa ebirungi, ai Lugaba Nnamugereka
    Nnamugereka tumwebaze ffe, ai Lugaba Nnamugereka
    Katumutwalire kku bino ebyaffe, ai Lugaba Nnamugereka
    Ku by`atugabira tumuddize ffe, ai Lugaba Nnamugereka
    Mugye tubitwale - Ai Lugaba Nnamugereka
    Tubitwale gy`ali -
    Omukama abisiime -
    Ebivudde mu ffe -
  2. Nnamugereka agaba ebirungi -
    Nnamugereka tumuddize ffe -
    Ffe abamutonera tumwewe naffe -
    Alyoke asiimwe bye tutona ebyo -
    Nnamugereka omulungi bw`atyo -
    Buli k`olina mutonere ggwe -
    Nnamugereka omulungi bw`atyo -
    N`obulamu bwo bumuddize oyo -
  3. Twanguweko tugende gy`ali -
    Nga tuli kimu ffena atusiimwe -
    Oyo gw`omanyi ng`era omukyaye -
    Ky`akusaba musonyiwe oyo -
    Alyoke asiimwe ekirabo ky`owa -
    Ekimusanyusa era ekiwooma -

    i) Weebale, weebale Ssebo Taata weebale -Tweyanzizza
    Ffenna twogera kimu Ssebo nti weebale -
    Tweyanzizza
    Tweyanzizza *2 Lugaba weebale tweyanzizza

    ii) Weebale, weebale Ssebo Taata weebale -
    Ffenna twogera kimu Ssebo nti weebale -

    iii) Weebale, weebale Ssebo obulamu bw`otuwa -
    Ffenna tuli mu ssanyu okukwebaza -

    iv) Weebale, weebale Ssebo obulamu bw`otuwa -
    Anti tuli mu ssanyu Ssebo okukwebaza -

    v) By`otugabira bingi weebale -
    Naffe tusaana tuyimbe Ssebo okukwebaza -

    vi) Weebale, weebale Ssebo Taata weebale -
    Ffenna twogera kimu Ssebo nti weebale -